2 Kings 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Elisa yagenda e Sunemu. Waaliyo omukazi ow'ekitiibwa eyamwegayirira alye ewuwe emmere. Buli lwe yabanga ayise eyo, yakyamanga alye emmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka Erisa n’agenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere ey’omu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, n’akyamira eyo okulya ku mmere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku lwali lumu Erisa n'atambula n'agenda e Sunemu. Eyo waaliyo omukazi omugagga, ne yeegayirira Erisa okulya ku mmere mu maka ge. Era okuva olwo, Erisa buli lwe yakwatanga ekkubo eryo, yagendanga n'alya ku mmere mu maka ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu, Elisa n'atambula n'agenda e Sunemu. Eyo waaliyo omukazi omugagga, ne yeegayirira Elisa okulya ku mmere mu maka ge. Era okuva olwo, Elisa buli lwe yakwatanga ekkubo eryo, yagendanga n'alya ku mmere mu maka ago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaku lwali lumu Erisa n'ayita n'agenda e Sunemu eyali omukazi omukulu; n'amuwaliriza okulya ku mmere. Awo olwatuukanga buli lwe yayitangawo n'akyamiranga omwo okulya ku mmere.