2 Kings 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naamani yali muduumizi w'eggye lya kabaka wa Aramu; yali muntu mukulu mu maaso ga mukama we, ng'assibwamu ekitiibwa, kubanga Omukama yali awadde Aramu obuwanguzi bungi ng'ayita mu ye. Yali musajja mutabaazi omuzira, kyokka nga mugenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo waaliwo omusajja erinnya lye nga ye Naamani eyali omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Busuuli, nga musajja wa maanyi mu maaso ga mukama we, era ng’ayagalibwa nnyo, kubanga Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi ku lulwe. Yali muserikale muzira ddala; naye nga mugenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naamani omukulu w'eggye lya kabaka w'e Busuuli yali muntu wa kitiibwa era omuganzi ennyo eri mukama we, kubanga olwa Naamani oyo, Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi: era yali musajja wa maanyi era omuzira, kyokka yali mugenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naamani, Omuduumizi w'eggye lya kabaka wa Siriya yali muntu waakitiibwa era asiimibwa ennyo mukama we, kubanga olwa Naamani oyo, Mukama yali awadde Siriya obuwanguzi. Naamani yali musajja wa maanyi omuzira, kyokka yali mugenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Naamani omukulu w'eggye lya kabaka w'e Busuuli yali musajja mukulu eri mukama we era wa kitiibwa, kubanga ku bw'oyo Mukama yali awadde Obusuuli okuwangula: era yali musajja wa maanyi muzira, naye yali mugenge.