2 Kings 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Naamani n'asunguwala, n'agenda ng'atolotooma nti: “Mbadde ndowooza nti anaafuluma n'ajja gye ndi, n'ayimirira n'akoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, n'ayisa omukono gwe awali ekigenge, n'amponya ekigenge kyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Naamani n’anyiiga, n’agenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo n’ajja, n’ayimirira n’akoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, n’awuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, n’amponya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka Naamani n'akyuka okuddayo nga bwatolotooma nti Kale laba! mbadde ndowooza ng'anaavaayo n'ayimirira wendi n'eyeegayirira Mukama Katonda we, n'ayisaayisa engalo z'e awali ebigenge, n'amponya!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Naamani n'asunguwala, n'agenda ng'agamba nti: “Kale laba! Mbadde ndowooza ng'anaavaayo n'ayimirira we ndi, ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayisaayisa engalo ze awali ebigenge, n'amponya!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Naamani n'asunguwala, ne yeddirayo n'ayogera nti Laba, mbadde ŋŋamba nti taaleme kufuluma gye ndi n'ayimirira n'asaba erinnya lya Mukama Katonda we n'ayisayisa engalo awali ekifo, n'awonya omugenge.