2 Kings 5:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emigga Abana ne Farupari egya Damasiko tegisinga bulungi mazzi gonna aga Yisirayeli? Sandisobodde kunaaba mu gino ne nziramu okulongooka?” N'afunyamu n'agenda ng'anyiigombye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abana ne Faafa, emigga gy’e Damasiko tegisinga amazzi gonna ag’omu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” N’akyuka n’agenda ng’ajjudde obusungu bungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emigga Abana ne Falufali egy'e Ddamasiko tegiriimu mazzi agasinga amazzi ga Isiraeri gonna obulungi? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu? N'akyuka n'agenda ng'aliko obuswandi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emigga Abana ne Farupari egy'e Damasiko tegiriimu mazzi agasinga amazzi ga Yisirayeli gonna obulungi? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu?” N'akyuka, n'agenda ng'aliko n'obuswandi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abana ne Falufali emigga egy'e Ddamasiko tegisinga bulungi mazzi gonna aga Isiraeri? siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu? Awo n'akyuka n'agenda ng'aliko ekiruyi.