2 Kings 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza be ne basembera w'ali, ne bamugamba nti: “Kitange, singa omulanzi abadde akugambye kukola kintu kisingawo, tewandikikoze? Leero nno alabisa kati ng'akugambye bugambi nti: ‘Naaba, oddewo olongooke?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bw’akugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu be ne bamusemberera ne bamugamba nti Ssebo, singa nnabbi akugambye okukola ekintu ekinene, tewandikikoze? Naye kino si kyangu nnyo bw'akugamba okunaaba obe mulongoofu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza be ne bamusemberera ne bamugamba nti: “Ssebo, singa omulanzi akugambye okukola ekintu ekinene, tewandikikoze? Kale tosinga nnyo okwanguyirwa nga bw'akugambye nti: ‘Naaba obe mulonguufu?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu be ne basembera ne boogera naye nti Kitange, nnabbi singa akulagidde okukola ekigambo ekikulu, tewandikikoze? kale toosinge nnyo bw'akugambye nti Naaba obe mulongoofu?