2 Kings 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akkirira, ne yennyika mu Yorudani emirundi musanvu ng'omuntu wa Katonda bwe yali amugambye, omubiri gwe ne gulongooka, nga kawerette ng'ogw'omwana omuto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aserengeta n’agenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ng’omusajja wa Katonda bwe yamulagira, n’aba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ng’ogw’omwana omuto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Naamani n'aserengeta, ne yennyika mu Mugga Yoludaani emirundi musanvu, ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba, n'awonera ddala, omubiri gwe ne gubeera ng'ogw'omwana omuto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Naamani n'aserengeta, ne yennyika mu Mugga Yorudaani emirundi musanvu, ng'omusajja wa Katonda bwe yamugamba, n'awonera ddala, omubiri gwe ne guba ng'ogw'omwana omuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aserengeta ne yennyika mu Yoludaani emirundi musanvu ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: omubiri gwe ne gudda nate ng'omubiri gw'omwana omuto, n’aba mulongoofu.