2 Kings 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naamani n'ekibinja kye kyonna ne bakomawo ew'omuntu wa Katonda, n'ayimirira mu maaso ge, n'agamba nti: “Kati mmanyidde ddala nti teri Katonda walala wonna mu nsi, wabula mu Yisirayeli mwokka. Kale nno, nkwegayiridde, kkiriza okusiima okuva ew'omuweereza wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Naamani n’ekibinja kye ne baddayo eri omusajja wa Katonda. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’ayogera nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga teri Katonda mu nsi endala zonna wabula mu Isirayiri. Noolwekyo kkiriza ekirabo okuva eri omuddu wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Naamani n'addayo ew'omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ayimirira mu maaso ge, n'agamba nti Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda wa Isiraeri ye katonda w'ensi zonna, teri mulala. Kale nkwegayiridde okkirize nkuwe ekirabo, nze omuweereza wo kye nkuleetedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addayo ew'omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ayimirira mu maaso ge, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda wa Yisirayeli ye Katonda w'ensi zonna, teri mulala. Kale nkwegayiridde okkirize nkuwe ekirabo, nze omuweereza wo kye nkuleetedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'addayo eri omusajja wa Katonda, ye n'ekibiina kye kyonna, n'ajja n'ayimirira mu maaso ge: n'ayogera nti Laba nno ntegedde nga tewali Katonda mu nsi zonna wabula mu Isiraeri: kale nno, nkwegayiridde, toola ekirabo ku muddu wo.