2 Kings 5:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Mazima Omukama gwe mpeereza nga mulamu, sijja kubaako kye ntwala.” Ne bwe yamusindirira, teyakkiriza n'akatono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi n’amuddamu nti, “Mazima ddala, nga Mukama gwe mpeereza bw’ali omulamu, siitwale kintu na kimu.” Naamani n’agezaako okumuwaliriza, naye ye n’agaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'agamba nti Mu mazima, nga Mukama gw'empeereza bw'ali omulamu, sijja kubaako kintu na kimu kye ntwala. N'amwegayirira nnyo okukitwala, kyokka ye n'agaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba nti: “Mu mazima, nga Mukama gwe mpeereza bw'ali omulamu, sijja kubaako kintu na kimu kye ntwala.” N'amwegayirira nnyo okukitwala, kyokka ye n'agaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, siitoole kyonna. N'amutayirira okukitoola; naye n'agaana.