2 Kings 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naamani n'agamba nti: “Oba tootwaleko, nkwegayiridde, omuweereza wo muweeyo ku ttaka eryenkana ennyumbu bbiri lye zisobola okutwala, kubanga omuweereza wo takyaddayo kuweereza bitambiro byokye oba bitone balubaale, wabula Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naamani n’amugamba nti, “Bwe kitaabe bwe kityo, nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eriyinza okusitulibwa ennyumbu bbiri, kubanga omuddu wo taliddayo nate okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka eri katonda omulala yenna wabula eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Naamani n'agamba nti Oba okigaanyi, nkwegayiridde ompe ettaka eriyinza okwetikkibwa ennyumbu bbiri, nditwale ewaffe, kubanga okuva kati, nze omuddu wo, siiwengayo ebiweebwayo ebyokebwa eri bakatonda abalala okujjako eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Naamani n'agamba nti: “Oba okigaanyi, nkwegayiridde ompe ettaka eriyinza okwetikkibwa ennyumbu ebbiri, nditwale ewaffe, kubanga okuva kati, nze omuweereza wo, siiwengayo ebiweebwayo ebyokebwa, wadde ebitambiro eri lubaale n'omu, wabula eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Naamani n'ayogera nti Oba tootoole, naye nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eryetikkibwa n'ennyumbu bbiri; kubanga omuddu wo takyawaayo okuva leero ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka eri bakatonda abalala wabula eri Mukama.