2 Kings 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kyokka Omukama ky'aba asonyiwa omuweereza wo: mukama wange bw'aliyingira mu kiggwa kya Rimmoni asinzize eyo, ate engeri gye yeesigama ku mukono gwange, olwo nange ndivunnama mu kiggwa kya Rimmoni; bwe ndiba nvunnamye mu kifo ekyo, Omukama ansaasire nze omuweereza wo olw'ekigambo ekyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne mu nsonga eno Mukama asaasire omuddu wo; mukama wange bw’anayingira mu ssabo lya Limoni okusinza, ne yeesigama omukono gwange, ne nvuunamira eyo mu ssabo lya Limoni, Mukama asonyiwe omuddu we olw’ensonga eyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu kino, Mukama ansonyiwenga nze omuweereza wo, bwe nnaawerekeranga mukama wange kabaka wa Busuuli okugenda mu ssabo lya Limmoni katonda wa Busuuli, okusinzizaayo. Bwe nnaavunamanga mu ssabo lya Limmoni, Mukama asonyiwenga mu ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu kino, Mukama ansonyiwenga nze omuweereza wo, bwe nnaawerekeranga mukama wange kabaka wa Siriya, okugenda mu ssabo lya Rimmoni lubaale wa Siriya, okusinzizaayo. Bwe nnaavuunamanga mu ssabo lya Rimmoni, Mukama ansonyiwenga mu ekyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama asonyiwe omuddu wo mu kigambo kino; mukama wange bw'anaayingiranga mu kigwa kya Limmoni okusinzizaayo ne yeesigama ku mukono gwange ne nkutama mu kigwa kya Limmoni, bwe nnaakutamanga mu kigwa kya Limmoni, Mukama asonyiwenga omuddu wo mu kigambo ekyo.