2 Kings 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno ebikwanga byali bivudde mu Aramu ne bigenda okunyaga mu Yisirayeli; eyo ne biwambayo omuwala omuto kati eyali omuzaana wa muka Naamani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo Abasuuli ne balumba Isirayiri, ne bawamba omuwala omuto okuva mu Isirayiri, n’aweerezanga mukazi wa Naamani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abasuuli bwe bataabaala Isiraeri banyagayo omuwala omuto eyaweerezanga muka Naamani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasiriya mu bikwekweto byabwe baali banyaze mu nsi ya Yisirayeli omuwala omuto, n'afuuka omuweereza wa muka Naamani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abasuuli baali batabadde bibiina, ne banyaga ne baggya mu nsi ya Isiraeri omuwala omuto; awo n'aweerezanga muka Naamani.