2 Kings 5:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gekazi omuweereza w'omuntu wa Katonda n'agamba nti: “Mukama wange amaze galeka ati Naamani ono Omwaramu, n'atakkiriza ku bye yaleeta. Mazima Omukama nga mulamu, ka mmuwondere mbeeko ke mmuggyako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n’alowooza mu mutima gwe nti, “Laba mukama wange bw’asaasidde Naamani ono Omusuuli, n’atakkiriza kirabo kimuweerebbwa. Mazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu nzija kumugoberera, mbeeko kye muggyako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n'agamba nti Laba, mukama wange bw'aleese Naamani ono Omusuuli okugenda n'atamuggyako ebyo byeyaleeta! Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, nja kudduka, mmugoberere, mbeeko kye mmuggyako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gehazi omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda, n'agamba nti: “Laba mukama wange bw'alese Naamani ono Omussiriya okugenda n'atamuggyako ebyo bye yaleeta! Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, nja kudduka, mmugoberere, mbeeko kye mmuggyako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Gekazi omuddu wa Erisa omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, mukama wange asonyiye Naamani ono Omusuuli okutoola mu mikono gye ekyo kye yaleeta: nga Mukama bw'ali omulamu, nadduka ne mmugoberera mbeereko kye nnaamuggyako.