2 Kings 5:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gekazi n'awondera Naamani. Naamani bwe yamulaba ng'adduka ajja gy'ali, n'abuuka ku kigaali kye, n'agenda okumusisinkana, n'amubuuza nti: “Byonna biri bulungi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago, Gekazi n’agoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ng’ajja adduka, n’ava mu gaali lye okumusisinkana, n’amubuuza nti, “Byonna biri bulungi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gekazi n'agoberera Naamani. Awo Naamani bwe yalaba amugoberera, n'ava mu ggaali lye okumusisinkana, n'amubuuza nti Mirembe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gehazi n'adduka ng'amugoberera, n'ava mu ggaali okumusisinkana. N'amubuuza nti: “Eriyo omutawaana?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gekazi n'agoberera Naamani. A'wo Naamani bwe yalaba amugoberera, n'ava ku ggaali okumusisinkana, n'ayogera nti Mirembe?