2 Kings 5:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agamba nti: “Biri bulungi, wabula Mukama wange antumye nkugambe nti: ‘Abavubuka babiri okuva mu bannakibiina ky'abalanzi bakantuukako nga bava mu nsozi za Efurayimu. Baweeyo talenta emu eya ffeeza n'emizingo ebiri egy'ebyambalo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gy’ali okuva mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuddamu nti Mirembe. Mukama wange antumye ng'ayogera nti Mu kaseera kano abaddu babiri ku b'ekibiina kya bannabbi kye bajje bantuukako nga bava mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu; nkwegayiridde, obawe talanta emu eya ffeeza n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gehazi n'addamu nti: “Teri mutawaana, naye mukama wange antumye okukugamba nti: ‘Mu kaseera kano abavubuka babiri ku b'ekibiina ky'abalanzi, kye bajje bantuukeko nga bava mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Nkusaba obawe talanta emu eya ffeeza, n'emigogo ebiri egy'ebyambalo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mirembe. Mukama wange antumye ng'ayogera nti Laba, kaakano kyebajje bajje gye ndi nga bava mu nsi y'ensozi eya Efulayimu abalenzi babiri ab'oku baana ba bannabbi; nkwegayiridde, bawe talanta ya ffeeza n'emiteeko gy'ebyambalo ebiri.