2 Kings 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayingira, n'ayimirira mu maaso ga mukama we. Elisa n'amubuuza nti: “Gekazi, ova wa?” N'ayanukula nti: “Omuweereza wo tannabaako w'alaga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayingira n’ayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa n’amubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’addamu nti, “Omuddu wo taliiko gy’agenze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gekazi n'ayimirira mu maaso ga mukama we. Erisa n'amubuuza nti Ova wa, Gekazi? N'amuddamu nti Omuddu wo taliiko gy'agenze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayingira mu nnyumba n'ayimirira mu maaso ga Elisa mukama we. Elisa n'amubuuza nti: “Ova wa Gehazi?” Gehazi n'addamu nti: “Nze omuweereza wo, sinnabaako we ndaga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'ayingira n'ayimirira mu maaso ga mukama we. Erisa n'amugamba nti Ova wa, Gekazi? N'ayogera nti Omuddu wo taliiko gy'agenze.