2 Kings 5:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'amugamba nti: “Omwoyo gwange tegwabaddewo omusajja bwe yavudde ku kigaali kye okukusisinkana? Buno bwe budde okufuna ffeeza, oba okutwala ebyambalo, ennimiro z'oliva n'ez'evviini, endiga, ente, abaddu n'abazaana?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Erisa n’amugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino ky’ekiseera eky’okutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ez’emizeeyituuni, oba ez’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'amugamba nti Omutima gwange tegugenze naawe omusajja bw'akyuse okuva mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kye kiseera eky'okwefunira ensimbi n'ebyambalo, n'ennimiro ez'emizeyituuni n'emizabbibu, n'endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Elisa n'amugamba nti: “Sibadde naawe mu mwoyo, omusajja bw'avudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kye kiseera okwefunira ensimbi n'ebyambalo, n'ennimiro z'emizayiti n'ez'emizabbibu, n'endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Omutima gwange tegugenze naawe, omusajja bw'akyuse okuva mu ggaali lye okusisinkana naawe? Kye kiseera okutoola ffeeza n'okutoola ebyambalo n'ensuku z'emizeyituuni n'ensuku z'emizabbibu n'endiga n'ente n'abaddu n'abazaana?