2 Kings 5:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ekigenge kya Naamani kikunywerereko n'ezzadde lyo emirembe gyonna.” Gekazi n'ava w'ali nga mugenge, nga mweru ng'omuzira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ng’omuzira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno ebigenge bya Naamani binakukwata ggwe era binaabanga n'ezzadde lyo emirembe gyonna. Gekazi n'ava aw'ali Erisa nga mugenge atukula ng'omuzira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno ebigenge bya Naamani binaakukwata ggwe, era binaabanga n'ab'ezzadde lyo emirembe gyonna.” Gehazi n'ava awali Elisa nga Gehazi mugenge, atukula ng'omuzira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ebigenge bya Naamani bineegatta naawe n'ezzadde lyo emirembe gyonna. N'ava w'ali nga mugenge atukula ng'omuzira.