2 Kings 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbaluwa gye yatwala ewa kabaka wa Yisirayeli yali esoma bw'eti: “Ebbaluwa eno bw'ekutuukako, manya nti nkusindikidde omuweereza wange Naamani omuwonye ekigenge kye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’atwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa, ng’egamba nti, “Nkuweerezza ebbaluwa eno n’omuweereza wange Naamani omuwonye ebigenge bye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aleetera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng'esoma bw'eti Ebbaluwa eno ng'etuuseko, ya ku kwanjulira omukungu wange Naamani gwe nkuweerezza omuwonye ebigenge bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aleetera kabaka wa Yisirayeli ebbaluwa ng'esoma bw'eti: “Ebbaluwa eno ng'ekutuuseeko, ya kukwanjulira mukungu wange Naamani gwe nkuweerezza omuwonye ebigenge bye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aleetera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng'ayogera nti Kale nno ebbaluwa eno bw'eriba ng'etuuse gy'oli, laba, nkutumidde Naamani omuddu wange omuwonye ebigenge bye.