2 Kings 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli bwe yasoma ebbaluwa, n'ayuza ebyambalo, n'agamba nti: “Ndi Katonda nti nsobola okutta ne nzizaamu obulamu, ono kyavudde ansindikira omuntu awonyezebwe ekigenge? Mulabe ono annoonyaako luyombo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayogera nti, “Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye? Mulaba bw’ansosonkerezaako oluyombo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka wa Isiraeri bwe yasoma ebbaluwa, n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Nze Katonda nzite era nnamye, omusajja ono n'okutuma n'antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? Naye mulowooze, mbeegayiridde, mutegeere bw'anesonsako okuyomba nange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli bwe yasoma ebbaluwa eyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'agamba nti: “Nze ndi Katonda? Nnina obuyinza okutta n'okugaba obulamu? Omusajja ono ayinza atya okuntumira okuwonya omuntu ebigenge bye! Mufumiitirize mulabe bw'anoonya ky'anasinziirako okuyomba nange!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka wa Isiraeri bwe yasoma ebbaluwa, n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Nze Katonda nzite era nnamye, omusajja ono n'okutuma n'antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? naye mulowooze, mbeegayiridde, mutegeere bw'anoonya ky'anannanga okuyomba nange.