2 Kings 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa omuntu wa Katonda bwe yakiwulira nti kabaka wa Yisirayeli ayuzizza ebyambalo bye, n'amutumira ng'agamba nti: “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Muleke ajje gye ndi ategeere nti mu Yisirayeli mulimu omulanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, n’amutumira ng’agamba nti, “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Isiraeri ayuzizza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'amutumira ng'agamba nti Lwaki oyuzizza ebyambalo byo olw'okusoberwa? Musindike ajje eno gye ndi alyoke amanye nga mu Isiraeri bwe mulimu nnabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Yisirayeli ayuzizza ebyambalo bye olw'okusoberwa, n'amutumira ng'agamba nti: “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo olw'okusoberwa? Leka ajje gye ndi, kale anaamanya nga mu Yisirayeli mulimu omulanzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Isiraeri ayuzizza ebyambalo bye n'atumira kabaka ng'ayogera nti Lwaki okuyuza ebyambalo byo? ajje nno gye ndi, kale anaamanya nga mu Isiraeri mulimu nnabbi.