2 Kings 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'asindika abasajja mu kifo omuntu wa Katonda kye yali amugambye. Elisa yalabulanga kabaka ntakera, kabaka n'abanga mwetegefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri n’atuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka n’awona si mulundi gumu so si ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yali amubuuliddeko ng'amulabula. Emirundi mingi, kabaka n'awona okutuukibwako akabi mu kifo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'atuma abantu mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yali amubuuliddeko ng'amulabula. Emirundi egiwera, kabaka n'awona okutuukibwako akabi mu kifo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusajja wa Katonda ky'amubuulidde ng'amulabula: n'awonera eyo omulundi si gumu so si ebiri.