2 Kings 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwa kabaka wa Aramu ne gutabuka olw'ekyo; n'ayita abaweereza be, n'agamba nti: “Lwaki temumbuulira oyo mu ffe akolagana ne kabaka wa Yisirayeli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era n’ayita abaserikale be, n’ababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo n'ekyeralikiriza nnyo kabaka n'asoberwa. N'ayita abakungu be n'ababuuza nti Ani ku mmwe ali ku lwa kabaka wa Isiraeri atulyamu olukwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo ne kireetera kabaka wa Siriya okusoberwa ennyo. N'ayita abakungu be, n'ababuuza nti: “Ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Yisirayeli?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omutima gwa kabaka w'e Busuuli ne gweraliikirira nnyo olw'ekigambo ekyo; n'ayita abaddu be n'abagamba nti Temuntegeeze bw'ali ku ffe ali ku lwa kabaka wa Isiraeri?