2 Kings 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku baweereza be n'amugamba nti: “Mu ffe temuli n'omu, mukama wange kabaka, wabula Elisa omulanzi ali mu Yisirayeli y'abuulira kabaka wa Yisirayeli ebigambo byonna by'oba oyogeredde mu kisenge mw'osula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bo n’amuddamu nti, “Tewali n’omu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, y’ategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo by’oyogerera mu kisenge kyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku baddu be n'addamu nti Nedda, mukama wange, ayi kabaka; naye Erisa nnabbi ali mu Isiraeri ye abuulira kabaka wa Isiraeri ebigambo by'oyogerera mu kisenge ky'osulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bakungu be n'addamu nti: “Tewali n'omu, ayi mukama wange Ssaabasajja, wabula Elisa, omulanzi ali mu Yisirayeli, ye abuulira kabaka wa Yisirayeli ne by'oyogerera mu kisenge kyo ky'osulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu ku baddu be n'ayogera nti Nedda, mukama wange, ai kabaka; naye Erisa nnabbi ali mu Isiraeri ye abuulira kabaka wa Isiraeri ebigambo by'oyogerera mu nju yo gy'osulamu.