2 Kings 6:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu matulutulu omuweereza w'omuntu wa Katonda bwe yazuukuka n'alaba eggye, embalaasi n'ebigaali nga bizinze ekibuga, n'agamba nti: “Kitalo, mukama wange! Tunaakola ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza ow’omusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya n’afuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, n’amagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. Omuddu we Erisa n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza wa Elisa omusajja wa Katonda bwe yazuukuka enkeera ku makya n'afuluma, n'alaba ab'eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. N'ayanguwa n'agamba mukama we nti: “Zitusanze, ayi mukama wange! Tunaakola tutya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. omuddu we n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya?