2 Kings 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa ne yeegayirira Katonda, n'agamba nti: “Ayi Mukama, zibula amaaso ge alabe.” Omukama n'azibula amaaso g'omuweereza, n'alaba olusozi nga lujjudde embalaasi n'ebigaali eby'omuliro nga byebunguludde Elisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'asaba n'agamba nti Mukama wange, nkwegayiridde, zibula amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, zibula amaaso ge alabe!” Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi oyo. Bwe yatunula n'alaba olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali agaaka omuliro, nga geetoolodde Elisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erisa n'asaba n’ayogera nti Mukama wange, nkwegayiridde, omuzibule amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba: awo; laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa.