2 Kings 6:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe ne baserengeta gy'ali. Elisa ne yeegayirira Omukama nti: “Nkwegayiridde, abantu bano bazibe amaaso.” Omukama n'abaziba amaaso nga Elisa bwe yasaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, n’asaba Mukama, n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso g’abantu bano.” N’aziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo eggye ly'Abasuuli bweryaserengeta okulumba Erisa n'asaba Mukama ng'agamba nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasiriya bwe bajja okulumba Elisa, Elisa n'asaba Mukama nti: “Ayi Mukama nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano.” Mukama n'aziba amaaso gaabwe, nga Elisa bwe yasaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baaserengeta gy'ali Erisa n'asaba Mukama n'ayogera nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali.