2 Kings 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayingira mu Samariya, Elisa n'agamba nti: “Ayi Mukama, zibula amaaso gaabwe balabe.” Omukama n'azibula amaaso gaabwe, ne balaba nga bali mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwayingira mu kibuga, n’asaba Mukama nti, “Zibula amaaso g’abasajja bano, balabe.” Mukama n’azibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baatuuka mu Samaliya, Erisa n'ayogera nti Mukama wange, zibula amaaso g'abantu bano balabe. Awo Mukama n'azibula amaaso gaabwe ne balaba; kale, laba, nga bali mu Samaliya wakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka mu Samariya, Elisa n'asaba Mukama nti: “Ayi Mukama, nkusaba ozibule amaaso gaabwe.” Bwe baatunula ne balaba nga bali mu Samariya wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo alwatuuka bwe baatuuka mu Samaliya, Erisa n'ayogera nti Mukam: wange, zibula amaaso g'abantu bani balabe. Awo Mukama n'azibul amaaso gaabwe ne balaba; kale laba, nga bah mu Samaliya wakati