2 Kings 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli bwe yabalaba, n'agamba Elisa nti: “Mbatte? Kitange, mbatte?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba, n’abuuza Erisa nti, “Kitange, mbatte? Mbatte?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka wa Isiraeri bwe yabalaba, n'abuuza Erisa nti Kitange, mbatte? Mbatte?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli bwe yalaba Abasiriya abo, n'abuuza Elisa nti: “Ssebo, mbatte? Mbatte?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Erisa bwe yabalaba nti Kitange mbakube? mbakube?