2 Kings 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addamu nti: “Totta. Wandisse abantu b'owambye n'akasaale ko n'omutego gwo? Bawe omugaati n'amazzi, balye, banywe, baddeyo ewa mukama waabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo b’owambye n’ekitala kyo, n’omutego gw’akasaale? Bategekere emmere n’amazzi, balye n’okunywa banywe, n’oluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'addamu nti Nedda tobatta, oyagala okubatta, obawambye mu lutalo? Bawe emmere n'amazzi, balye era banywe, obaleke baddeyo ewa mukama waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'addamu nti: “Nedda, tobatta, oyagala okubatta, obawambye mu lutalo? Bawe emmere n'amazzi, balye era banywe, obaleke baddeyo ewa mukama waabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu nti Tobakuba: oyagala okukuba abo b'owambye n'ekitala kyo n'omutego gwo? teeka emmere n'amazzi mu maaso gaabwe balye banywe badde eri mukama waabwe.