2 Kings 6:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babategekera embaga nnene ddala, ne balya, ne banywa, n'abasiibula, ne baddayo ewa mukama waabwe. Ebikwanga by'Abaaramu tebyaddayo mulundi mulala kunyaga mu nsi ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abateekerateekera embaga nnene, era bwe baamala okulya n’okunywa, n’abasindika ne baddayo eri mukama waabwe. Abasuuli okwo kwe baakoma okulumba ensi ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'abakolera embaga nnene. Bwe baamala okulya n'okunywa, kabaka n'abasiibula ne baddayo ewa mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja bya Busuuli ne bikoma okujjanga mu nsi ya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'abakolera embaga nnene. Bwe baamala okulya n'okunywa, kabaka n'abasiibula ne baddayo ewa mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja bya Siriya ne bikoma okujjanga mu nsi ya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abateekerateekera bingi: awo bwe baamala okulya n'okunywa n'abasindika ne bagenda eri mukama waabwe. Awo ebibiina eby'e Busuuli nga tebikyajja nate mu nsi ya Isiraeri.