2 Kings 6:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazinda ekibuga olw'obutasegukako, enjala ddekabusa n'egwa mu Samariya, omutwe gw'endogoyi ne gutuuka okugula sekeli kinaana eza ffeeza, ate ekitundu kimu ekyokuna ekya kabu y'ensigo z'obutungulu obumererezi nga kigula sekeli za ffeeza ttaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne waba enjala nnyingi nnyo mu kibuga olw’okuzingiza okwo, omutwe gw’endogoyi ne gutundibwanga kilo emu eya ffeeza, n’ekimu ekyokuna eky’ekibya eky’obusa bw’enjiibwa ne kitundibwanga gulaamu ataano mu ttaano eza ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nnyingi: kale, laba ne bakizingiza okutuusa lwe baatunda omutwe gw'endogoyi olw'ebitundu eby'effeeza kinaana (80), n'ekitundu ekyokuna eky'ekibya ekyakalimbwe wa Mayiba ne bakitunda ebitundu by'effeeza bitaano (500).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okuzingiza okwo, ne waba enjala nnyingi mu kibuga, omutwe gw'endogoyi ne gutuuka okugula sekeli kinaana, n'ekimu ekyokuna ekya kilo ya kalimbwe w'enjiibwa ne kigula sekeli ttaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nnyingi: kale, laba ne bakizingiza okutuusa lwe baatunda omutwe gw'endogoyi olw'ebitundu eby'effeeza kinaana, n'ekitundu eky'okuna eky'ekibya eky'obusa bw'amayiba nga babutunda olw'ebitundu by'effeeza bitaano.