2 Kings 6:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Nedda, Omukama y'anaakujuna. Nnyinza kukujuna na ki? Nnaakiggya mu gguuliro, oba mu ssogolero lya vviini?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’amuddamu nti, “ Mukama bw’ataakuyambe, nze nnaakuyamba ntya? Obuyambi nnaabuggya mu gguuliro oba mu ssogolero?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'amuddamu nti Mukama bw'ataakuyambe, nze nnaggya wa eby'okukuyamba? Mu gguuliro nantiki mu ssogolero?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'addamu nti: “Mukama bw'anaaba takuyambye, nze naggya wa eby'okukuyamba nga nange mu gguuliro sirinaamu kaakulya, wadde mu ssogolero, akookunywa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mukama bw'ataakuyambe, nze naggya wa eby'okukuyamba? mu gguuliro nantiki mu ssogolero?