2 Kings 6:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?” N'ayanukula nti: “Omukazi ono yaŋŋambye nti: ‘Leeta mutabani wo tumulye olwa leero, mutabani wange tunaamulya enkeera.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kwe ku mubuuza nti, “Mutawaana ki?” Omukazi n’amuddamu nti, “Omukazi ono gw’olaba yateesezza nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye leero, enkya tulye owange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'amubuuza nti Obadde ki? N'amuddamu nti Mukazi munnange ono yaŋŋamba nti Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye olwaleero, olwenkya tulyoke tulye owange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amubuuza nti: “Obadde ki?” Omukazi n'addamu nti: “Mukazi munnange ono yaŋŋamba nti: ‘Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye olwaleero, olwenkya tulyoke tulye owange!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'amugamba nti Obadde ki? N'addamu nti Omukazi ono yaŋŋamba nti Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye leero era tunaalya omwana wange ow'obulenzi enkya.