2 Kings 6:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe tutyo ne tufumba mutabani wange ne tumulya. Enkeera ne mmugamba nti: ‘Leeta mutabani wo, tumulye;’ naye mutabani we yakwese mukweke.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nzikiriza, ne tufumba owange ne tumulya. Enkeera ne mugamba nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye,’ naye amukwese.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tufumba omwana wange, ne tumulya. Ku lunaku olwaddako ne mmugamba nti Waayo omwana wo tumulye, kyokka omwana owuwe amukwese!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne tufumba omwana owange, ne tumulya. Ku lunaku olwaddako ne mmugamba nti: ‘Waayo omwana wo tumulye,’ kyokka omwana owuwe amukwese!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne tufumba omwana wange ne tumulya ne mmugamba ku lunaku olw'okubiri nti Waayo omwana wo tumulye naye omwana we amukwese.