2 Kings 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku bo n'agamba nti: “Naawe mala gatukkiriza ojje wamu n'abaweereza bo.” N'ayanukula nti: “Nzija kujja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku bo n’amubuuza nti, “Toogende n’abaddu bo?” N’addamu nti, “Nzija kugenda nammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku bo n'amugamba nti Kkiriza ogende n'abaddu bo. N'addamu nti Kale n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza ogende naffe abaweereza bo.” Elisa n'addamu nti: “Kale tugende.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne waba ayogera nti Nkwegayiridde, kkiriza ogende n'abaddu bo. N'addamu nti Naagenda.