2 Kings 6:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi, n'ayuza ebyambalo bye; bwe yagenda ayitaayita ku bbugwe, abantu ne balaba nga munda ku mubiri ayambaliddeko ekikutiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka bwe yawulira ebigambo by’omukazi oyo, n’ayuza ebyambalo bye. Bwe yali ng’atambula ku bbugwe, abantu ne bamulengera, laba ng’ayambadde ebibukutu wansi w’ebyambalo bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala; abantu abali awo ku bbugwe ne balaba kabaka ng'ayambadde ebibukutu olw'okunakuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bwe yawulira ebigambo omukazi oyo bye yayogera, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala. Abantu abaali awo ku kisenge ky'ekibuga we yali ayita ne balaba ng'ayambadde ekikutiya ku mubiri gwe olw'okwebonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi n'ayuza ebyambalo bye; (era yali ng'ayitawo ku bbugwe;) abantu ne batunula, kale, laba, ng'ayambadde ebibukutu munda ku mubiri gwe.