2 Kings 6:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa omutwe gwa Elisa mutabani wa Safati gusigala ku nsingo ye olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti Katonda ambonereze n'obukambwe, Erisa mutabani wa Safati bw'ataatemweko omutwe olwaleero!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Katonda ambonereze n'obukambwe, Elisa mutabani wa Saafati bw'ataatemweko mutwe olwaleero!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabera ku ye leero.