2 Kings 6:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa yali atudde mu nnyumba ye, n'abakadde nga bali naye. Kabaka n'asoosaayo omubaka. Naye omubaka yali tannaba kutuuka, Elisa n'agamba abakadde nti: “Mumanyi ng'omutemu asindise wano omuntu antemeko omutwe? Kale nno omubaka bw'ajja, muggaleewo oluggi, mulunyigirize aleme kuyingira; enswagiro y'ebigere bya mukama we yiiyo emuvaako emabega.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kye kimu ekyo, Erisa yali atudde mu nnyumba ye nga n’abakadde batudde wamu naye, kabaka n’atuma omubaka okumukulemberamu, naye omubaka oyo bwe yali tannatuuka, Erisa n’agamba abakadde nti, “Mulaba omutemu oyo bw’atumye omuntu okuntemako omutwe? Laba, omubaka ajja, muggaleewo oluggi mulunyweze so temumukkiriza kuyingira. Ebigere bya mukama we tebiri mabega we, tamuvaako mabega?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'atumira Erisa omubaka. Mu kiseera ekyo Erisa yali wuwe eka n'abakadde abaali bazze okumulaba. Omubaka wa kabaka yali tannatuuka, Erisa n'agamba abakadde abo nti Mulabye omutemu ono bw'atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka we bw'anajja, muggaleewo oluggi mulunyweze aleme kuyingira. Ne kabaka yennyini ajja kuba nga amuvaako emabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atumira Elisa omubaka. Mu kiseera ekyo Elisa yali wuwe eka n'abamu ku bantu abakulu abaali bazze okumulaba. Omubaka wa Kabaka yali tannatuuka, Elisa n'agamba abakulu abo nti: “Mulabye omutemu ono bw'atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka we bw'anajja, muggalewo oluggi mulunyweze aleme kuyingira.” Ne kabaka yennyini anajja ng'amuvaako emabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Erisa n'atuula mu nnyumba ye n'abakadde ne batuula naye; kabaka n'atuma omusajja okuva gy'ali: naye omubaka nga tannatuuka gy'ali n'agamba abakadde nti Mulabye ono omwana w'omussi bw'atumye okunziyako omutwe? kale omubaka bw'anajja, muggaleewo oluggi munyigirize oluggi ku ye: enswagiro z'ebigere bya mukama we teziri nnyuma we?