2 Kings 6:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba akyayogera nabo omubaka n'atuuka w'ali. Kabaka n'agamba nti: “Akabenje kano kavudde wa Mukama; nkyalindira ki Omukama?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erisa bwe yali ng’akyayogera nabo, omubaka n’atuuka, n’ayogera nti, “Akabi kano kavudde eri Mukama. Lwaki nnindirira Mukama nate?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali ng'akyayogera nabo, kabaka n'atuuka w'ali n'agamba nti Mukama ye atutuusizzaako akabi kano. Kale lwaki nnyongera okulindirira Mukama ky'anaakola?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali ng'akyayogera nabo, omubaka n'atuuka w'ali n'agamba nti: “Mukama ye atutuusizzaako akabi kano. Kale lwaki nnyongera okulindirira Mukama ky'anaakola?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ng'akyayogera nabo, laba, omubaka n'aserengeta gy'ali: n'ayogera nti Laba, akabi kano kavudde eri Mukama; kiki ekinaaba kinnindiriza nate Mukama?