2 Kings 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu bwe yali atema omuti, omutwe gw'embazzi ne gugwa mu mazzi, n'aleekaana nti: “Ndabye, mukama wange! Eno ebadde neeyazike.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba ng'aleekaana nti Zinsanze, mukama wange! kubanga embazzi ebadde nneeyazike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'ewanguka n'egwa mu mazzi. N'aleekaana ng'agamba nti: “Zinsanze nze, mukama wange! Embazzi ebadde neeyazike!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba n'ayogera nti Zinsanze, mukama wange! kubanga ebadde nneeyazike.