2 Kings 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Aramu yali alwana ne Yisirayeli, n'ateesa n'abaweereza be n'agamba nti: “Tusiisire mu kifo ekimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ng’agamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesa n'abaddu be ng'ayogera nti Egindi ye eriba olusiisira lwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka wa Siriya n'aggula olutalo ku Yisirayeli. N'ateesa n'abakungu be, n'alonda ekifo gy'anaakuba olusiisira lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w’e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesa n'abaddu be ng'ayogera nti Egindi ye eriba olusiisira lwange.