2 Kings 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu wa Katonda n'atumira kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Wekkaanye, toyita mu kifo ekyo, kubanga Abaaramu gye bakkirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda n’aweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Weekuume oleme okuyita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye basiisidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Elisa omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Yisirayeli ng'agamba nti: “Weekuume, oleme okuyita mu kifo bwe kiti, kubanga eyo Abasiriya basiisiddeyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Weekuume oleme okuyita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye baserengese.