2 Kings 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'agamba nti: “Muwulire ekigambo ky'Omukama. Omukama kino ky'agamba: ‘Enkya mu budde nga buno, seya y'obuwunga obukuŋŋunte eneeba egula sekeli ya ffeeza emu, ate seya bbiri eza sayiri zijja kugula sekeli ya ffeeza emu ku wankaaki wa Samariya.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Erisa n’agamba nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, Jjo obudde nga buno ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita omusanvu ne desimoolo ssatu kiritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri bitundibwe gulaamu kkumi n’emu ebweru wa wankaaki w’e Samaliya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya Mukama: bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Enkya mu budde nga buno ku wankaaki wa Samaliya, ekigero ky'obutta obulungi kinagula sekeri, n'ebigero bya sayiri bibiri nabyo binatundiibwa sekeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa n'agamba nti: “Muwulire Mukama ky'agamba. Mukama agamba nti: ‘Enkya mu budde nga buno, ekibbo ekimu eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi kijja kugula sekeli emu, n'ebibbo bibiri ebya bbaale nabyo bijja kugula sekeli emu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erisa n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya Mukama: bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Enkya bwe bunaaba nga kampegaano ekigero ky'obutta obulungi kiritundibwa sekeri, n'ebigero bibiri ebya sayiri sekeri mu wankaaki w'e Samaliya.