2 Kings 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda, ne bayita abaggazi b'ekibuga, ne babanyumiza nti: “Twagenze mu lusiisira lw'Abaaramu, tewaabaddeyo muntu n'omu, yadde omuntu anyega, wabula embalaasi n'endogoyi ensibe, weema nga zirekeddwa awo zityo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagenda ne bakoowoola abakuumi ba wankaaki w’ekibuga, ne boogera nti, “Twalaze mu nkambi y’Abasuuli ne tutasangayo muntu n’omu okuggyako embalaasi nga zisibiddwa, n’endogoyi nga zisibiddwa, n’eweema nga ziri nga bwe baazirese.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bagenda ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bamugamba nti Twagenze mu lusiisira lw'Abasuuli, netutasangayo muntu yenna wadde okuwulirayo eddoboozi ly'omuntu yenna, naye embalaasi n'endogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga zirekeddwa awo ttayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagenda ne bakoowoola abaggazi b'ekibuga, ne babategeeza nti: “Tuyingidde mu lusiisira lw'Abasiriya, ne tutasangayo wadde okuwulirayo omuntu n'omu, naye waliyo mbalaasi na ndogoyi ezisibiddwa, n'eweema ezirekeddwa nga bwe zaabadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bajja ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bababuulira nti Twatuuse mu lusiisira lw'Abasuuli, kale, laba, nga temuli muntu newakubadde eddoboozi ly'omuntu, naye embalaasi nga zisibiddwa n'eadogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga bwe zaali.