2 Kings 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'asituka ekiro, n'agamba abaweereza be nti: “Mbabuulire Abaaramu kye batukoze? Bamanyi nga tufa enjala, kyebavudde bava mu nsiisira ne beekweka ku ttale, nga bagamba nti: ‘Bajja kuvaayo mu kibuga, awo tujja kubakwata nga balamu,’ olwo ffe tuyingire mu kibuga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’agolokoka mu kiro ekyo, n’agamba abakungu be nti, “Ka mbategeeze Abasuuli kye bategese okutukola. Bamanyi nga tuli bayala; era bavudde mu nkambi yaabwe ne bagenda okwekweka ku ttale, nga balowooza nti, ‘Mazima ddala bajja kuvaayo, n’oluvannyuma tunaabawamba nga balamu, tulyoke tuyingire mu kibuga.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano n'abategeeza olukwe Abasuuli lwe bakoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwali bukyali kiro, kabaka n'agolokoka, n'agamba abakungu be nti: “Ka mbabuulire Abassiriya kye baategese. Bamanyi ng'enjala etuli bubi. N'olwekyo baavudde mu lusiisira lwabwe okwekweka mu ttale nga bagamba nti: ‘Abayisirayeli bwe banaava mu kibuga, tunaabawamba nga balamu ne tuyingira ekibuga.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano naabategeeza Abasuuli kye batukoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga.