2 Kings 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku baweereza be n'agamba nti: “Tuddire embalaasi ttaano ezisigadde mu kibuga tuzisindikeyo, tulabe. Ekinaazigwako kinaaba ng'eky'abantu ba Yisirayeli bonna abasigaddewo abasuliridde okufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku bakungu be n’aleeta ekirowoozo nti, “Ffuna abasajja bagende n’embalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo, kubanga bali ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekisigaddewo; baliba ng’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekimaliddwawo. Ka tubasindikeyo bagende balabe ekiriyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku baddu ba kabaka n'agamba nti Abantu abasigadde mu kibuga kyenkana balinga abafu, n'olwekyo tutume abasajja n'embalaasi ettaano ezisigaddewo bazuule ekiriwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bakungu be n'agamba nti: “Nkwegayiridde wabeewo abagendayo ku mbalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo mu kibuga. Bwe banaalama, banaaba kimu n'Abayisirayeli abalala bonna abasigadde mu kibuga. Bwe banaafiirayo, banaaba kimu n'Abayisirayeli abalala bonna abafudde. N'olwekyo tutumeyo tulabe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu ku baddu be n'addamu n'ayogera nti Batwale ku mbalaasi ezisigadde ettaano, nkwegayiridde, ezisigadde mu kibuga, (laba, ziri ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ekisigadde mu kyo; laba, ziri ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ekimaliddwawo:) tutume tulabe.