2 Kings 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bafuluma, ne banyaga olusiisira lw'Abaaramu. Seya y'obuwunga obukuŋŋunte ng'egula sekeli ya ffeeza emu, ate seya ebbiri eza sayiri nga zigula sekeli emu, ng'Omukama bwe yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ne bafuluma, ne bakaliza olusiisira lw’Abasuuli. Ekigero ky’obutta obulungi ekyenkana lita musanvu ne desimoolo ssatu ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ebigero bibiri ebya sayiri ne bitundibwa gulaamu kkumi n’emu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ne bafuluma ne banyaga olusiisira olw'Abasuuli. Awo ekigero ky'obutta obulungi ne babutunda sekeri, n'ebigero ebya sayiri bibiri sekeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Samariya ne bagenda ne banyaga olusiisira lw'Abassiriya. Ekibbo ky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi ne kigula sekeli emu, n'ebibbo bibiri ebya bbaale ne bigula sekeli emu nga Mukama bwe yagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne bafuluma ne banyaga olusiisira olw'Abasuuli. Awo ekigero ky'obutta obulungi ne babutunda sekeri, n’ebigero ebya sayiri bibiri sekeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.