2 Kings 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyatuukirira ng'omuntu wa Katonda bwe yali agambye kabaka nti: “Enkya mu budde nga buno, seya y'obuwunga obukuŋŋunte eneeba egula sekeli ya ffeeza emu, ate seya bbiri eza sayiri zijja kugula sekeli ya ffeeza emu ku wankaaki wa Samariya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kityo bwe kyali kubanga omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti, “Jjo essaawa nga zino ebigero bibiri ebya sayiri biritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ekigero ky’obutta obulungi ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, mu wankaaki ya Samaliya,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne kituukirira ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti Ebigero ebya sayiri bibiri bya sekeri, n'ekigero ky'obutta obulungi kya sekeri, bwe kiriba bwe kityo mu mulyango gwe Samaliya enkya obudde nga buno;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja wa Katonda kye yagamba kabaka ne kituukirira nti: “Enkya mu budde nga buno, ku mulyango oguyingira mu Samariya, ebibbo bibiri ebya bbaale binaagula sekeli emu, n'ekibbo kimu eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi kinaagula sekeli emu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne kituukirira ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti Ebigero ebya sayiri bibiri bya sekeri, n'ekigero ky'obutta obulungi kya sekeri, bwe kiriba bwe kityo mu mulyango gw'e Samaliya enkya bwe buliba nga kampegaano;