2 Kings 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugabe ow'oku kigaali yali ayanukudde omuntu wa Katonda nti: “Omukama ne bw'anaasumulula ebiyiriro by'eggulu, ekyo kinaasoboka okubeerawo?” Elisa yali amuzzeemu nti: “Ojja kukyerabirako n'amaaso go, naye tojja kulyako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omukungu oyo, yaddamu omusajja wa Katonda nti, “Laba, Mukama ne bwaggulawo ebituli eby’omu ggulu, tekiyinzika kubaawo.” Omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Olikiraba n’amaaso go, naye toliryako na kimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omwami oyo n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Mukama ne bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekikulu ekyenkanidde awo tekiyinza kubaawo. Naye omusajja wa katonda n'amuddamu nti olikiraba n'amaaso go, naye tolibiryako:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukungu n'addamu omusajja wa Katonda nti: “Mukama ne bwe yanditonnyesezza enkuba amangwago, ekyo ekyenkana awo kisobola okubaawo?” Elisa n'addamu nti: “Ojja kukirabira ddala n'amaaso go nga kibaawo, naye ebyo tojja kubiryako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omwami oyo n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba nno, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyenkanidde awo kyandiyinzise okubaawo? n'ayogera nti Laba, olikiraba n'amaaso go, naye toliryako: