2 Kings 7:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugabe ow'oku kigaali nnyini mukono kabaka kwe yali yeesigamye n'ayanukula omuntu wa Katonda nti: “Omukama ne bw'anaasumulula ebiyiriro by'eggulu, ekyo kinaasoboka okubeerawo?” N'amuddamu nti: “Ojja kukyerabirako n'amaaso go, naye tojja kulyako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukungu kabaka gwe yeesigamangako n’agamba omusajja wa Katonda nti, “ Mukama ne bw’anakuba ebituli mu ggulu, ekyo tekiyinzika kubaawo.” Erisa n’amuddamu nti, “Ekyo olikiraba n’amaaso go, naye tolibaako na kimu ky’olyako ku byo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwami wa kabaka ow'okulusegere n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyo tekiyinza kubaawo. Erisa n'addamu nti Ojja kukirabira ddala n'amaaso go, naye ebyo tojja kubiryako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukungu wa Kabaka amubeera ku lusegere n'addamu omusajja wa Katonda nti: “Kale Mukama ne bwe yanditonnyesezza enkuba amangwago, ekyo ekyenkanidde awo kisobola okubaawo?” Elisa n'addamu nti: “Ojja kukirabira ddala n'amaaso go nga kibaawo, naye ebyo tojja kubiryako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwami kabaka gwe yeesigamanga ku mukono gwe n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyo kyandiyinzise okubaawo? N'ayogera nti Laba, olikiraba n'amaaso go, naye toliryako.